Ssenga Kawomera avuddeyo ku bannayuganda abatabukidde omuwala Martha Kay obutakyalira nsiko ku myaka gye.
Sabiti eno, ebifaananyi bya Martha byafuluma ng’ali bukunya, bangi ku bannayuganda bagamba nti muwala alabika bulungi kuba ategeera kye bayita okuyonja ebitundu by’ekyama kyokka yalemwa okukyalira ensiko, ekintu ekikwasa ennyo abaana abawala.
Okukyalira ensiko naddala omwami wo ng’amanyi omugaso gw’okukyalira ensiko kiyamba omukyala okufuna obwagazi amangu ate n’abasajja banyumirwa okukunoonya ng’olina abalongo.

Anti bw’okyalira ensiko n’akakukufa kavaayo. Kale kubanga ku kakukufa we wasibuka obwagazi mu mukyala kiyamba omukyala okusumulukuka obulungi.
Waliyo bantu bangi abalowooza nti bw’otabeera na balongo togenda kuzaala, si kituufu, jjukira amawanga mangi tebalina balongo naye bazaala.
Ssenga Kawomera agamba nti obuwangwa mu Uganda bulina enjawulo era si buli mukyala mu Uganda nti alina okukyalira ensiko, abantu balina okukomya okunenya Martha.
Mungeri y’emu agambye nti okukuuma obuwangwa kyandibadde kirungi omukyala ng’ava mu ggwanga erikyalira ensiko n’akyala nga mu Buganda eri abakyala abaganda.
Ssenga era agamba nti oluusi abasajja naddala abavubuka tebamanyi mugaso gwa balongo. Kale gwe ng’omukyala olina okuyigiriza omwami omugaso kubanga abalongo bayamba omukyala n’omwami nga bali mu kisenge.
Ssenga Kawomera awadde Martha n’abakyala abalala amagezi, nti abakyala oba abawala abakulu nabo basobola okukyalira ensiko. Bakozesa entengotengo ennene era abalongo ne bavaayo, agamba nti yogera ne munno akubuulire oba ddala abeetaaga ate ng’omanyi okubakozesa ne mufuna essanyu.