Kyaddaki mwana muwala Martha Kay ali mu maziga oluvanyuma lw’okukitegeera lwaki omusajja ategerekeseeko erya Banet yafulumizza ebifaananyi bye ng’ali bukunya ku Lwokutaano lwa sabiti eno.
Okusinzira ku vidiyo ku mukutu gwa Mama Uganda, omusajja ye Banet era kigambibwa ye ne Martha baludde nga baagalana.
Okusinzira ku bubaka obuli mu vidiyo, Banet agamba nti Martha okwenda ku basajja abalala y’emu ku nsonga lwaki yafunye obusuungu, kwekusalawo okufulumya ebifaananyi bye ng’ali bukunya.
Wabula Martha amwanukudde era agambye nti ye yejjusa olunnaku lwe yasisinkana Banet mu bulamu bwe.
Martha agamba nti abadde ayagala nnyo Banet kyokka kye yakoze tasobola kugenda mu ggulu kuba amwononedde erinnya n’ekitiibwa.
https://www.youtube.com/watch?v=2fim0UgAi9M