Kiyongobero kibutikidde abakozi n’ebagenyi ku Namirembe Guest House mu Kampala, ekisenge bwe kikubye emu ku ‘Restaurant’ eziri mu kifo ekyo, n’ekitta abantu babiri (2) nga kivudde ku namutikwa w’enkuba, afudembye akawungeezi ka leero.
Okusinzira omwogezi wa Poliisi mu Kampala Patrick Onyango, abafudde, babadde banywamu kacaayi, ekisenge kwe kubagwira.
Onyango agamba nti abafudde kuliko Albert Kabahita ne Stella Jealobo era emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa.
Eddoboozi lya Onyango