Kyaddaki omuwala Martha Kay avuddemu omwasi ku bigambibwa nti akakiiko ka Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa, Rev. Fr. Simon Lokodo, kalina okumunonyerezaako oluvanyuma lw’ebifaananyi bye okufulumizibwa sabiti ewedde ng’ali bukunya.

Akakiiko kalina olukusa okubonereza abantu bonna abasasaanya ebifanaanyi eby’obuseegu ku yintaneeti era mu kiseera kino Martha ali mu buzibu.

Wabula Martha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era asobodde okweyambisa ebigambo 3, “It will pass” okutegeeza abawagizi be nti byonna biggya kuyita.