Ensonga z’omuwala Martha Kay tezinaggwa, buli lunnaku waliwo akapya akafuluma.
Sabiti ewedde ku Lwokuna, bannayuganda bangi basobeddwa olw’ebifaananyi bya Martha okufuluma ng’ali bukunya.
Kigambibwa omusajja eyategerekeseko erya Banet abadde muganzi wa Martha Kay okumala akabanga mbu ye yafulumizza ebifaananyi ebyo.
Wabula Banet agamba nti wadde Martha abadde amwagala nnyo kuba alina laavu, abadde asukkiridde obwenzi ng’alina abasajja abalala era yafunye obusuungu ng’omusajja omulala yenna.
Martha okwenda ku muganzi we, y’emu ku nsonga lwaki Banet yavudde mu mbeera okufulumya ebifaananyi bye ng’ali bukunya okusobola okumuswaza mu bantu abalala mu ngeri okwesasuza.
