Abantu 3 bebagambibwa okubeera nga bafiiridde mu kubumbulukuka kw’ettaka e Lutsakhe, mu Muluka gwe Bunamwaba, mu Gombolola y’e Buwali mu Disitulikiti y’e Bududa.
Kigambibwa nti abantu abawerako n’okutuusa kati tebanamanyiddwako mayitire.
Ettaka lisudde amayumba agasukka 100 oluvanyuma lw’enkuba okunonya okumala ennaku eziwera.
Mu kiseera kino, wooffisi ya Ssaabaminisita esindiise ttiimu y’abantu ab’enjawulo okuyambako mu kunoonya abatuuze abakyabuze n’okuyamba abetaaga okuyambibwa.

Ettaka lyatandise okuyiguulukuka ku ssaawa nga 7:00 ez’emisana era abantu abateeberezebwa okuba nti baafudde beebo abaasangiddwa mu mayumba nga beebase, oba balina bye bakola kubanga kyabadde kizibu okuvaamu.
Amayumba mangi gaabulidde mu ttaka nga kirowoozebwa nti abaagabaddemu bangi baafiiriddemu.
Abatuuze abaawonyewo we bwazibidde eggulo baabadde bawadaawadako okuyiikuula ettaka balabe oba waliwo bannaabwe be basobola okutuusa kyokka omulimu gwabadde muzibu kubanga ettaka lingi eritasoboka kuyoolwa na nkumbi wadde ebitiiyo okuggyako ttulakita.

Ebisolo okuli ente, embuzi, embizzi, n’ebinyonyi ng’enkoko, wamu n’ennimiro bingi byasaanyewo mu kabenje kano.
Enkuba eyabumbuludde ettaka yatonnya okuva sabiti ewedde ne ligonda okutuusa lwe lyabumulukuse eggulo.