Poliisi mu ggwanga erya Tanzania ekutte omusomesa lwa kusangibwa n’emmundu ekika kya AK-47 mu ngeri emenya amateeka.

Solomon Leteto myaka 30 nga musomesa wa Pulayimale yakwattiddwa era emmundu musangiddwamu amasasi ataano (5) kyokka Poliisi mu kwaza amakaage, musangiddwamu n’amasanga g’enjovu.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu kibuga Arusha Jonathan Shana, omusomesa abadde akozesa emmundu mu kubba abatuuze, abalambuzi ssaako n’okutta ebisolo by’omunsiko.

Omusomesa akwattiddwa wa Gavumenti mu ssomero lya pulayimale era mukwewozaako kwe agambye nti asomesa Olungereza, ebyafaayo (history) ne geography ekitabudde abasirikale abamukutte.

Wabula abamu ku bannansi bagambye nti abasomesa okufuna omusaala omutono, y’emu ku nsonga lwaki batandiise okwenyigira mu bintu ebimenya amateeka, okufuna ssente ezimala okwebezaawo.