Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yayogeddeko eri eggwanga ku Serena Hotel mu Kampala ng’asinzira mu Ssematteeka w’eggwanga akatundu 101(1) akalagira omukulembeze w’eggwanga yenna okwogerako eri eggwanga ku nsonga ez’enjawuo.
Olunnaku olwaleero, tukuletedde ezimu ku nsonga Pulezidenti Museveni ze yasobodde okulambika eggwanga
1 – Ebyobulambuzi byongedde okubeera ebyomugaso mu byenfuna by’eggwanga. Bino byongedde ku nkulakulana era nga byebikulembera okuleetera Uganda ku ssente enzungu (Foreign exchange).
2 – Engeri ey’omulembe gavumenti gyesobola okugaziyaamu eby’enfuna bye ggwanga kwekuteeka ssente mu kuzimba enguudo, ebisaawe by’ennyonyi, enguudo z’eggaali y’omukka, okutereza amazzi n’amabibbiro g’amasanyalaze nga bino byonna birina okukozesa abakozi abawera ne tekinologiya okusobola okuwa abavubuka emirimu.
3 – Enkozesa y’amaanyi ga nukiliya mu Uganda yeyongera okulinnya buli lukya naddala mu bujjanjabi, amakolera n’ebyobulimi. Kuno gavumenti kwesinzidde neteekawo olukalala okwewandisiza ebitongole n’abantu abakozesa amaanyi gano.
4 – Ebyobulimi bannayuganda abasinga kwebesigamye okulakulana mu byenfuna. Bino bigatta ku byenfuna ebitundu 25 ku 100 era nga bannayuganda 70 ku 100 be beeyimirizaawo ku bulimi.
5 – Bwembadde ntalaga eggwanga, mbadde ngamba bannayuganda nti waliwo engeri nnya zetusobola okuyitamu okutondawo emirimu n’okugaggawala era zeezino, Okulima mu bungi tusobole okutunda, Okutondawo amakolero, Obuwereza (entambula, wooteri, amaduuka n’ebirala) n’ebya tekinologiya.
6 – Gavumenti esoosowaza okutondawo ebibangirizi byamakolero okusobozesa okwanguya okutandika amakolero n’okutondawo emirimu. Omugatte gw’amakolero getulina kati gali 4900 okuva mu 84 getwalina nga tutandika UMA n’Omugenzi James Mulwana.
7 – Wadde nga Uganda yali mu ntalo okuva mu 1986-2005, Uganda ly’eggwanga lyokka mu Africa elikulira ku misinde nga telirina mafuta n’abya bugagga birala. Tubirina naye tubadde tetubikozesa wakati mu bizibu byetulina, tuliko wetutuuse.
8 – Gavumenti ya NRM ekyalwana okulaba nga mu ggwanga mubeeramu emirembe, kino tugenda kiyisa mu kubeera namwoyo gwa ggwanga, demookulasiya n’obukulembeze obulungi okusobola okutwala eggwanga mu maaso, Obuzzi bw’emisango bujja kumalibwawo.