Poliisi y’e Gulu etandiise okunoonyereza ku bigambibwa nti sipiika wa disitulikiti y’e Gulu John Okwonga yasobezza ku mwaka omuto myaka 14.

Omusango gwatwaliddwa aba famire ku kitebe kya Poliisi e Gulu ku fayiro namba CRB762/62/2019.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema, Okwonga yakwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitanajja kyokka oluvanyuma yaweereddwa akakalu ka poliisi.

Okema agamba nti aba famire balumiriza sipiika Okwonga okusobya ku muwala waabwe mu March wa 2019 mu makaage ku kyalo Laroo mu ggombolola y’e Gulu.

Mungeri y’emu agambye nti fayiro y’omusango esindikiddwa eri omuwaabi wa Gavumenti okuwabula Poliisi ku musango ogwo.

Sipiika Okwonga akirizza ekya Poliisi okumugyako sitetimenti kyokka agaanye okwogera ku musango ogwo.

Ekifaananyi kya chimpreports