Mu nsi y’omukwano, waliwo abawala abagamba nti tebalina mazzi era nga banuubula abasajja nga bali mu kaboozi, abamu bagamba nti tebatuuka ku ntikko, abalala bagamba nti tebafuna bwagazi wabula Ssenga Kawomera avuddeyo okuwa amagezi ku nsonga ezo.

Ssenga Kawomera agamba nti buli mukyala yenna alina amazzi oba ag’emugga naye abamu balemwa okufuna amazzi kuba abasajja balemwa okubanoonya obulungi nalemwa okusumulula obusimu bw’omukwano.

Mungeri y’emu agamba nti omukyala yenna okubeera mu mbeera nga tayagala kwegatta naye ne yeegatta, kiyinza okuvaako embeera obutaleeta mazzi.

Ssenga Kawomera era agamba nti singa omukyala yenna afuna ekirowoozo nti ye talina mazzi, kyabulabe nnyo kuba kimulemesa okutekateeka obwongo okuwa omusajja amazzi.

Ate ku nsonga y’obwagazi, Ssenga agamba nti singa omukyala yenna afuna ebirowoozo oba ng’omusajja tasobola kumunoonya bulungi, ayinza okulemwa okufuna obwagazi.

Omukyala yenna okufuna obwagazi obwegatta, omusajja y’alina okunoonya omukazi. Abamu balowooza nti bw’aba ayagala, asuubira n’omukazi aba ayagala era wano w’akusangira ng’oli mukalu ate omukyala tosobola kutuuka ku ntikko nga tofunye bwagazi.

Ssenga Kawomera agamba nti mu nsi y’omukwano, obwagazi bwe bulina okusooka olwo entikko n’eddako.