Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde yegumbulidde okubba ATM Card mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Julius Atukwase nga mutuuze ku kyalo Kitagata mu disitulikiti y’e Sheema bamukwattidde mu tawuni kanso y’e Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso bw’abadde agezaako okubba ATM Card y’omu ku bakyala mu kitundu ekyo, abadde agenze mu bbanka okufuna ssente nga Atukwase yefudde amuyamba.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Patrick Onyango, Atukwase abadde anoonyezebwa ku by’okubba ATM Card, mu disitulikiti y’e Sheema era okwattibwa kwe, kigenda kubayamba nnyo nga Poliisi okuzuula akabinja k’ababbi abali mulimu gw’okubba ATM Card mu ggwanga.