Eyali Pulezidenti w’eggwanga erya Zimbabwe, Robert Mugabe afudde.
Mugabe eyamala mu buyinza emyaka 37 abantu ne batandika okumukazaako erya ‘’sita ntebe’’ afiiridde ku myaka 95.

Mu November w’omwaka oguwedde ogwa 2018, Pulezidenti Emmerson Mnangagwa, yalangirira nti Mugabe takyasobola kutambula olw’obukadde n’embeera y’obulamu embi.
Mugabe yagobwa mu buyinza mu 2017 oluvannyuma lw’amagye okwekyawa ne gamuwamba ng’amaze mu buyinza emyaka 37. Mnangagwa yeyamuddira mu bigere era oluvannyuma n’alondebwa mu kalulu mu July w’omwaka oguwedde ogwa 2018.

Mugabe y’ani?

Related Stories
GIWUNYE! Ebya Bryan White byonoonese, balagidde akwatibwe ate mu bwangu lwa kuzannyira mu vuvuzera z’abaana

Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku Read more

Vicious LRA Commander Ogwen Handed 25 yrs In Jail

The International Criminal Court (ICC) at the Hague sentenced the former Lord's Resistance Army- LRA Read more

Amannya ge ye Robert Gabriel Mugabe kyokka babadde baamukazaako “Uncle Bob”, yazaalibwa, 21, February, 1924 (afiiridde ku myaka 95). Bamuzaala ku kyalo Kutama mu Zimbabwe.

Abadde pulezidenti asinga mu nsi yonna obuyivu ng’alina ddiguli musanvu ensomerere ne ddiguli ezisukka mu 50 ezaamuweebwa obuweebwa.
Diguli ttaano ku musanvu z’alina yazisomera mu kkomera gye yamala emyaka 10 nga musibe. Wakati wa 1955–1960, yali musomesa mu Zambia ne Ghana nga tannayingira byabufuzi.

Mu 1960, yayingira ebyobufuzi bwe yeesogga ekibiina ekya Zimbabwe African National Union (ZANU-PF).
Mu 1964, yakwatibwa n’aggalirwa gavumenti y’Abazungu abaali bakulembera Zimbabwe ng’ekyayitibwa Rhodesia era mu kkomera yamalamu emyaka 10 n’ayimbulwa mu 1974.

Mu 1974, Mugabe ng’ayimbuddwa mu kkomera, yalondebwa okubeera omukulembeze bwa ZANU-PF mu 1974 era yali omu ku bakulembeze ab’ekibiina ky’obuyeekera nga bannansi ba Zimbabwe balwanyisa abafuzi b’amatwale okutuuka lwe baamegga Abangereza mu 1980 Zimbabwe n’efuna obwetwaze.

Mu 1980 yasooka kulondebwa okubeera Katikkiro wa Zimbabwe okutuuka mu 1987, Konsitityusoni ya Zimbabwe lwe yakyusibwa Mugabe n’adda mu bigere bya Canaan Sodindo Banana eyasooka okubeera Pulezidenti wa Zimbabwe okuva mu April 1980.
Mukyala we Grace Ntombizodwa Mugabe myaka 54 yasooka kubeera muwandiisi we era ne basiimagana wadde nga Mugabe abadde amusinga emyaka 41.

Mugabe ne Grace babadde balina abaana okuli, Bona Mugabe, Russell Goreraza, Chatunga Bellarmine Mugabe, Robert Peter Mugabe Jr.
Mugabe yasooka kuwasa Sally Hayfron enzaalwa y’e Ghana era baazaala omwana omu Nhamodzenyika, wabula omwana oyo yafa yaakazaalibwa era baamuziika Ghana.

Endwadde emusse temanyikiddwa kuba abasawo babadde baagikuuma nga yaakyama.