Poliisi y’e Jinja ekutte Victor Olwenyi bba w’omulamuzi Immaculate Nyamwenge ow’eddaala erisooka e Njeru.

Kigambibwa Olwenyi yakubye mukyala we Nyamwenge oluyi ku kyalo Walukuba-Masese mu Monisipaali y’e Jinja ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero oluvanyuma lw’okusaanga engoye z’omusajja omulala mu nju omuli empale ngeri ku ttaka.

Kigambibwa omusajja alowoozezza nti mukyala we Nyamwenge abadde n’omusajja omulala mu kaboozi kuba engoye za musajja.

Mu sitetimenti ku kitebe kya Poliisi e Jinja, omukyala Nyamwenge agambye nti bba Olwenyi abadde asukkiridde okutyoboola eddembe lye n’okumulangira obwenzi wadde balina abaana basatu (3) era y’emu ku nsonga lwaki yaddukira mu kkooti ku ntandikwa y’omwaka gunno ogwa 2019 okusaba okusatululwa wadde baagattibwa mu bufumbo Obutukuvu mu 2017.

Addumira Poliisi mu bitundu bye Jinja Vincent Irama agambye nti omusajja aguddwako omusango gw’okulumya omuntu n’okwenyigira mu butabanguko mu maka.