Kyaddaki Ssenga Kawomera awadde omuyimbi Rema Namakula amagezi ku bintu eby’enjawulo okwewala laavu ya Dr. Hamza Ssebunya okukuziba maaso.

Ssenga Kawomera agamba nti mu kiseera kino Rema ali nnyo mu laavu ne Dr. Ssebunya kyokka singa teyegenderezza, ayinza okugwa mu buzibu, “Omukwano bwe guyingirawo emirundi mingi gukyusa abantu olwo ne bava ku biruubirirwa byabwe, yali alowooza ebyokwezimba, ssente zonna yeesanga atandise kuziryamu kaasi. Oluusi ebivaamu tebiba birungi naddala ssinga baba baawukanye

Ku nsonga eyo, Ssenga Kawomera agamba nti Rema alina okugenda mu maaso ng’akola by’abadde akola, “Rema mukyala muyimbi wadde ali mu laavu ne Dr Ssebunya, alina okugenda mu maaso n’okuyimba kwe.

Ssenga Kawomera era agambye nti Rema alina okumanya nti omukwano alina ogusaamu amagezi, “Omuntu omutuufu era akwagala ebituufu ajja kufuba okulaba ng’okulaakulana, buli lw’olaba omuntu alaga nti akwagala annyo, naye nga tafaayo ku nkulaakulana yo, tayagala okole, alowooza ku bya kwesanyusa byokka“.

Ssenga era agamba nti Rema lina okwetengerera nnyo naddala ku nsonga ezikwata ku bulamu bwe. Rema alina okuggya mu birowoozo bye nti Dr. Ssebunya alina okumuwa buli kimu.

Ku nsonga za laavu, Ssenga Kawomera agamba nti “Rema wadde ayagala nnyo Dr. Ssebunya mu kiseera kino, alina okumwegendereza ennyo kuba abasajja befuula ate singa Dr Ssebunya yefuula, Rema agenda kuswala nnyo n’okuwa Eddy Kenzo enseko“.