Omuyimbi Shafik Walukagga amanyikiddwa nga Fik Fameica azzeemu okulangirira konsati okuwa abawagizi be essanyu.
Kinnajjukirwa nti nga 14th December 2018, Fameica yalina konsati ku Kyadondo Rugby era yafuna abantu batono nnyo ekyavaako okufuna obutakaanya n’eyali manejja we Kama Ivien era oluvanyuma baayawukana.
Wabula Fameica agambye nti kati asajjakudde mu kisaawe ky’okuyimba era omwaka ogujja ogwa 2020, alina okuddamu okutegeka konsati endala mu Kampala.

Bwe yabadde awayamu n’omusasi waffe yagambye nti, “nina entegeka okuddamu okutegeka konsati naye sigenda kuddayo Kyadondo, njagala kugenda ku Serena oba Africana ku ntandiikwa y’omwaka ogujja ogwa 2020“.

Ate bwe yabuuziddwa ku butakaanya wakati we n’eyali manejja we Kama, Fameica yagambye nti, “nze sirina buzibu bwona naye kuba Kama muganda wange era tukwatagana naye mungeri emu oba endala, naye nze abantu bonna abali mu kisaawe ky’okuyimba bagamba nti kimu one love, one love, one love, one love“.

Fik alina ennyimba ez’enjawulo omuli Tonsukuma, Omu bwati, Mwaga, Tubikole, Born to Win, Sconto, Byenyenya n’endala.