Mu nsi y’omukwano, abantu balina obukodyo obw’enjawulo bwe bakozesa okulaga nti bali mu laavu.
Mu Uganda, abayimbi balina omuze okuyimba ennyimba z’omukwano naye nga bakikola okusindika obubaka eri abaagalwa baabwe.
Eky’okulabirako, Rema Namakula abadde afulumya ennyimba ez’enjawulo okusindikira eyali bba Eddy Kenzo ‘sigino’ nti waliwo ebitatambula bulungi mu laavu yabwe omuli oluyimba ‘Siri Muyembe’.
Mungeri y’emu Rema yafulumya oluyimba ‘Deep in Love‘ mweyateeka ebigambo, “Obudde bwebuziba, Nange olwo nesanyuka, Owomukwano mba manyi, Nti anatela okudda, Eey bwab’akooye mukwatako, nemuwembejja, Bwab’ewange abamugumu mujjakukiliza, Njakuba omuyayye, Bwab’omuyayye, Njakubeera mukyala doctor, Bwanabanga doctor, Tweyagala ffeka ffeka, Atatwagala akimire, Twesanyusa ffeka ffeka, Bwoba totwagala bireeke“.
Mu kiseera kino Rema ali mu laavu ne Dr Hamza Ssebunya ekiraga nti yali ayimba ku bba nti ali mu mukwano naye.
Wosomera bino ng’omuyimbi Lydia Jazmine naye yafulumizza oluyimba ‘Akaaba‘ ng’ali ne FaceeOff Ug omuli ebigambo, “Buli Lwenkulabako Nkuyita Linya Lya Daddy, Mukwano Mungi Gwoyina Gulete Wa Mami, Ebintu Byekiyaye Bikole Kubali“, ekiraga nti naye atandiise okufulumya ennyimba z’omukwano ng’asindikira muganzi we mu ngeri y’okubuzabuza abantu.
Tekimanyiddwa oba Jazmine yimba buyimbi nnyimba nnungi oba naye alina omusajja naye nze naawe katulinde, Omutonzi yasiinga okumanya.