Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu kitongole kya Kalisoliso wa Gavumenti (IGG).

Museveni akyusizza abadde akulira ekitongole ekyo omulamuzi Irene Mulyagonja n’amuzzaayo mu kitongole ekiramuzi gye yamuggya.

Omulamuzi Mulyagonja aziddwayo mu kkooti ejulirwamu kyokka Museveni tanaba kulangirira kaliisoliiso omuggya.

Emirundi mingi Museveni abadde agamba nti Mulyagonja alemeddwa okulanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga era y’emu ku nsonga lwaki yateekawo akakiiko okuva mu maka ge Entebbe akakulemberwa Lt. Col. Edith Nakalema okuyambako mu kulwanyisa obuli bw’enguzi.

Kigambibwa mu Uganda abantu bangi benyigidde mu kulya enguzi n’okubulankanya ssente z’eggwanga kyokka Mulyagonja abadde alemeddwa okubakangavula.

Abalala abalamuzi abasindikiddwa mu kkooti ejulirwamu kuliko Monica Kalyegira ne Kibeedi Muzamiru era mu kiseera kino amannya gaabwe gasindikiddwa mu Palamenti mu kakiiko akekeneenya abakungu abalondebwa Pulezidenti.