Mu kiseera ng’emboozi ya Rema Namakula ne Eddy Kenzo ekyali ku mimwa gy’abantu, nate omutunuulizi w’ensonga Joseph Tamale Mirundi naye avuddeyo okutangaaza ku nsonga eyo.

Mu kiseera kino Rema, ateekateeka kwanjula bba omuggya Dr. Hamza Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka ate Kenzo akyasobeddwa.

Wabula Mirundi agamba nti Kenzo ne Rema bonna bawanguzi mu kiseera kino wadde ensonga zabwe zikyali mu mawulire.

Mirundi agamba nti Kenzo ne Rema bonna baana bato kyokka tebanaba kuwanyisiganya bigambo wadde okukayanira ebintu.

Mungeri y’emu agamba nti ensonga zaabwe, bazikutte bulungi wadde bannayuganda bazisosowaza nnyo ku mikutu gyonna.

Mirundi era agambye nti Kenzo okuwandiika ku Face Book buli lunnaku ku bigenda mu maaso mu kiseera kino omuli okusaba Sheikh Nuhu Muzaata okumwetondera, kabonero akalaga nti yanyoleddwa nnyo olwa Rema okugenda kyokka obulamu bulina okutambula era alina okukyusa obwongo, anoonye omukyala omulala.