Omuyimbi Rema Namakula ali mu ssannyu oluvanyuma lw’okwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna e Nabbingo ku lwe Masaka.
Rema yayanjudde bba ku mukolo ogwasombodde abanene b’omu Kampala nga bakulembeddwamu Ssentebe w’abagagga abeegattira mu kiibiina kya Kwagalana, Godfrey Kirumira.

Oluvanyuma lw’okuleeta akabbo k’amuwala, Rema yeebazizza bba Dr. Hamzah okukiriza okukyala mu bazadde n’okuweesa omukolo ekitiibwa.

Wakati mu ssannyu, yagambye nti, “bambi mpulira essanyu, okugamba nti mwami wange nga ddala kituufu, webale kunjagala webale kujja, I love you so much mwami wange kuba wooli nkulabako“.
Olw’essannyu n’ebigambo bya Rema, bangi ku badigize bakiriza nti Rema ayagala bba Dr. Hamzah kuba yabadde ayagala kukaaba.