Omuyimbi Rema Namakula ali lubuto mu kiseera kino okusinzira ku mukwano gwe era olubuto yalufuna mu kiseera ng’ali mu maka ga Eddy Kenzo e Sseguku.

Kigambibwa waliwo mukwano gwa Rema eyasindikidde Ritah Kaggwa mu ggwanga erya Bungereza amawulire ku Snapchat okulaga nti Rema yafuna olubuto lwa Dr. Hamzah Ssebunya mu kiseera ng’ali mu maka ga Kenzo.

Mungeri y’emu obubaka bulaga nti Hamzah musajja mwavu nnyo era Rema yalina okweteekamu ssente okumwanjula mu bazadde be olw’okutya okuswala ssaako n’okulaga nti omusajja alina kye bayita ssente.

Mu kiseera kino tekimanyiddwa lwaki mukwano gwa Rema yafulumiza obubaka oluvanyuma lwa Rema okwanjula bba wabula abamu ku bawagizi ba Rema bagamba nti abantu bangi balina ennugu kuba bangi ku bawala bakyalemeddwa okufuna obufumbo obutongole.