Mu laavu, singa omuntu yenna afuna omwagalwa omutuufu, obulamu bulina okukyuka era y’emu ku nsonga lwaki abantu bangi balwawo nga banoonya abantu abatuufu.
Mu kiseera kino tuyinza okugamba Rema Namakula yafunye omuntu omutuufu kuba okuva ku ntandikwa ya sabiti eno bali kulya bulamu ku chobe safari lodge ne kabite we Dr. Hamzah Ssebunya oluvanyuma lw’emikolo nga 14, November, 2019.

Okusinzira ku bifaananyi okuva ku Chobe, biraga nti Rema ne Hamzah bali mu mbeera nungi nnyo, kulya bulamu, kusasaanya ku ssente n’okwegyako ebirowoozo bya Eddy Kenzo n’abantu abalala.

Kigambibwa Rema ne Hamzah bakedde kweekuba ‘kabuna’ ku Chobe nga bali mu kisenge kyabwe era abamu ku bakozi babadde balowoozo nti waliwo obuzibu kyokka oluvanyuma bakizudde nti bali mu laavu.

Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutendereza omukwano gwa Hamzah era agambye nti, “The Ssebunyaz💗💗 wulululu mamanzeeeee“.