Dr. Hamza Ssebunya atandiise okukola ebintu bya Eddy Kenzo era singa takyusaamu, omukyala Rema Namakula ayolekedde okufuna omusajja omulala ategeera obulungi ensonga z’omukwano.

Nga 14, November, 2019, Rema yayanjudde bba Dr. Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka era omukolo gw’aliko abantu bangi nnyo.

Dr. Ssebunya oluvanyuma lw’okumwanjula mu bazadde, abadde awaana mukyala we Rema buli lunnaku emirundi 2 kwe 3 ku mukutu ogwe ogwa Face Book, “Dr Hamza Ssebunya” okulaga nti ali mu laavu ne Rema kyokka oluvanyuma lw’okutwala Rema okulya obulamu ku Chobe Safari Lodge, akulungudde ennaku 4 nga tamwogerako kigambo kyonna ku mukutu gwe ogwa Face Book.

Ku Face Book, Dr. Ssebunya yakoma okuwaana Rema nga 22, November, 2019 era yakozesa ebigambo bya laavu “Oli Kimuli Kya Rosa Ekiwunya Akawowo Empisa Nedabika Manya Gwe Abasinga laba Amaaso mama!!!!!!!!!! So international baby maama!“, ekiraga nti ebbugumu lya laavu wakati waabwe likendedde.

Wabula Ssenga Kawomera agamba nti, “Rema kati alina okweyisa obulungi okusikiriza omusajja mu mbeera yonna kuba kati ye yamaze okulozaako, ayinza okuba kye yali asuubira mu munne sibwebiri, ayagala mazzi, omukyala mukalu, buli musajja alina ekintu ekimunyumira ate nga kya njawulo mu kisenge, ekibuuzo, Rema yategeera munne, ekirala Hamza yatwala Rema ng’omukyala oba ng’omuyimbi alabika obulungi kuba ayinza okukola ebya Eddy Kenzo okulemererwa embeera omukyala namusuula mu nju“.

Mungeri y’emu agambye nti Kenzo okukola ennyo naabulwa obudde bwa Rema okumuwa essannyu y’emu ku nsonga lwaki mu kiseera kino baayawukana dda, era Dr. Ssebunya alina okukyewala kuba abalwadde bayinza okumulemesa okuwa Rema ekimusanyusa.