Omuyimbi Rema Namakula awangudde ‘Award’ mu Buzz Teeniez Awards era kiraze nti y’omu ku bakyala abalina talenti y’okuyimba.
Oluyimba lwa Rema ne B2C, ‘Gutujja’ lwalondeddwa nga Kolabo esiinze mu mwaka 2019.
Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okusiima abawagizi be okumuwagira ye ne banne aba B2C, “Thank you so much for the love ladies and gentlemen. Thank you buzz Teeniez Awards“.

Oluyimba Gutujja mulimu ebigambo bya Rema ebigamba nti,”Olina omukwano ogutalina alina, onkoona mubiri magumba nga musekuzo, Wampa laavu babby wampa kwekkusa, Wamponya bu love nigger bu ssemyekozo, would you mind would Mind? calling your phone at any time?”.
Mu luyimba, Kenzo yasobodde okuggyamu ebigambo, “bu love nigger bu ssemyekozo” era yafulumiza oluyimba “ssemyekozo” ku ntandikwa ya November, 2019.

Mu luyimba ssemyekozo, Kenzo agamba nti, “Muliwa ba semyekozo abaakolamu? Obulamu bunyuma bw’oba nga wakolmu, Sirina bissera nze ngenda ahead, Ekindeese kwe kubuusa abo, oh yeah, Ebigambo tebigula mata atalina sente erindazi talifumita, Ebintu bya buseere make up n’ebizigo bya bussere, oh yeah, Ebintu bya buseere make up n’ebizigo babiseera nnyo, Ba nga ffe ba love nigga, Abagaba laavu n’ensimbi, M’omwana asaba meleva, N’omuwa milk n’abuuka“.
Wabula wadde Kenzo naye alina oluyimba ssemyekozo, ebigambo bya Rema ku Face Book biraga nti musanyufu nnyo olwa bawagizi be okumwagala okumwerabizza ennaku ya Kenzo kuba yamusuula mu nnyumba emyaka egisukka mwe 2 nga tewali kunyumya kaboozi.