Bya Nalule Aminah

Poliisi ekutte omusawo w’ekinnansi ku by’okusobya ku bawala babiri (2) nga bonna baaluganda bonna ne bafuna embuto.

Omusawo w’ekinnansi Magambo Musa amanyikiddwa nga Mulangira Musoga nga mutuuze ku kyalo Masazi mu ggombolola y’e Kamengo mu disitulikiti y’e Mpigi yakwattiddwa ku by’okutikka abaana embuto okuli owe 16 ne 18, bwe baali bagenze mu ssabo lye okubambulula endwadde ezaali zibaluma omwaka oguwedde ogwa 2019 omwezi Ogwomunaana.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Magambo yasuubiza abaana okuwona singa bakiriza okubasindikamu eddaagala ng’aliyisa mu bitundu by’ekyama mu ngeri y’okwegatta kyokka oluvanyuma kyazuuliddwa nti bonna bali mbuto.

Mungeri y’emu avumiridde eky’abantu okweyambisa emirimu gyabwe okusobya ku baana abato omuli abasawo b’ekinnansi, abasawo, abasomesa n’abantu abalala.

Mu kiseera kino abawala batwaliddwa mu offisi y’abasirikale abakola ku nsonga z’amaka okubabudabuda, okubeerabiza ebyaliwo.