Abatuuze bawonyezza omusajja okwetta bw’asangirizza mukyala we Eseza Kusasira ng’asinda omukwano n’omusajja omulala ku kitanda kye ku kyalo Kamwokya Church Zone, Kampala, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande.
Omusajja ategerekeseeko erya Juma agamba nti yakomyewo awaka okukima ‘Densite ye, kyokka yagenze okuyingira mu nnyumba, ng’omusajja n’omukyala bali bukunya ku kitanda bali mu kaboozi, ku luyimba lwa Nina Rose ‘Munda dala‘ kwekusalawo okwekumako omuliro mu nnyumba, kyokka yataasiddwa abatuuze.
Eddoboozi lya Juma
Ku nsonga eyo, omukyala Kusasira agamba nti yayawukana dda ne Juma kuba yali asukkiridde okumutulugunya ate yali yamusuubiza dda okumutusaako obulabe era ensonga ziri ku Poliisi.
Kusasira agamba nti omusajja abadde ku kitanda abadde mukwano gwe era abadde akola ‘Work we’ era yewunyiza Juma okuyingira mu nnyumba.
Eddoboozi ly’omukyala
Omukyala Kusasira n’omusajja Juma bonna mu kiseera kino bali ku Poliisi y’e Kamwokya.