Poliisi y’e Bududa eri mu kunoonya omulenzi myaka 10 ku by’okutta mulenzi munne olw’obutakaanya kaana akawala kebaludde nga bakwana.

Omwana amannya gasirikiddwa, asomera ku Buwali primary school mu disitulikiti y’e Budada, aliira ku nsiko mu kiseera kino ku by’okutta Sam Watsosi myaka 16 abadde mu S2 ku Bulucheke secondary school.

Kigambibwa, omugenzi Watsosi yalumbye omwana gw’alumiriza okwagala akawala kaganzi ke wabula omwana yakutte akambe, naafumita mu kifuba wakati mu kulwanagana.

Watsosi yaddusiddwa mu ddwaaliro lye Bududa kyokka yafudde nga yakatuusibwayo.

Okusinzira kw’addumira Poliisi Bududa Jaffar Magyezi, Poliisi eyingidde mu nsonga ezo okunoonya omwana ku misango gy’obutemu.

Mungeri y’emu alabudde abavubuka okukomya okutambula n’ebisi omuli ebyambe, ebiso era yenna anaakwatibwako, teri kumuttira ku liiso.

Ate akawala akaavuddeko okulwanagana n’omuntu okufa, tekamanyiddwa mu kiseera kino.

Ate abatuuze, bewuunyizza omwana myaka 10 gyokka okutta munne olwa kawala.