Munnakatemba Martha Kay alaze nti ali mu laavu n’oluyimba lwa Eddy Kenzo ssemyekozo wadde mu kiseera kino waliwo abakyala abagamba nti Bannamyekozo.

Martha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti oluyimba ssemyekozo lumuwa essannyu wakati mu laavu ng’aluyimba, “This song makes me happy“.

Omwaka oguwedde ogwa 2019, Martha Kay yali nnyo mu mawulire oluvanyuma lw’ebifaananyi bye okufulumizibwa ng’ali bukunya kyokka mu kiseera kino yabivaako dda, anoonya musajja ayinza okufukirira vuvuzera nga mwesigwa.

Ate Kenzo asobodde okweyambisa omukutu gwe gumu ogwa Instagram, okulaga nti anoonya Martha Kay era agambye nti, “marthakayug #weyayu“.