Kyaddaki muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba alaze lwaki ali mu laavu ne Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan.
Sheilah abadde mu laavu ne God’s Plan mu lwatu okuva mu 2018 wadde tebalina mwana mu kiseera kino.

Sheilah mu ngeri y’okulaga nti tewali muntu yenna ayinza kumulemesa laavu wakati we ne bba, agambye nti, abantu tebalina kulimbibwa nti laavu si kintu kirungi kuba ye akifunyemu nnyo, “Don’t let the world fool you that falling in love isn’t a beautiful thing“.

Mu ngeri y’emu alaze nti ye nga Sheilah alina okuwuliriza ennyimba ezimusuula mu laavu mu buli mbeera yonna, “I love music that makes me fall in love again and again“.

Ebigambo bye ku mukutu ogwa Instagram, birimu obubaka obusomooza ba ‘slay queen’ kuba bangi mu Uganda bafuna abasajja ab’enjawulo nga banoonya ssente wabula si laavu kyokka Sheilah agamba nti okuba mu laavu kye kisinga byonna.