Kyaddaki omutegesi w’ebivvulu Balaam Barugahara alambuludde ensonga kwebasinzidde okulonda abayimbi, abalina okukyamula bannakibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu ttabamiruka w’ekibiina olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga mu kisaawe e Namboole.

Balaam agamba nti abayimbi abagenda okuyimba kuliko Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool, Catherine Kusasira, Ragga Dee, Jenifer Full Figure, Ibrahim Mayanja (Big Eye), Fiina, Crane Performers n’abalala okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo wabula munnakibiina kya NRM, omuyimbi Michael Mugwanya (King Michael) tayitiddwa.

Ku nsonga ya King Michael, Balaam agambye nti, “omanyi nalonze abalinawo so atalinaawo yenna tagenzeeko ku lisiti ate kaabadde kakiiko akaakulembeddwa Big Size Bebe Cool n’akakiiko akategesi aka National Resistance Movement kebaloonze ku entertainment. Nze bampadde buwi instruction okukubira abayimbi amassimu, lisiti ne bagikola era ku lisiti kuliko mukono gwa Bebe Cool ne mukyala Kusasira ne Jenifer Full Figure naye nze bonna aba NRM mbagala buli alinawo ne Big Eye kwali ku lisiti, tulina abayimbi mu bitundu by’eggwanga lyonna, abalina Work mwebale mukuume omutindo so oba tolina Work lekeraawo okukabira abantu nti oli mwavu, abalina ssente tebakaaba, Spice Diana takaaba kubanga akola afuna ebivvulu so webuuze lwaki gwe tebakuwa bivvulu“.

Ebigambo bya Balaam biraga nti King Michael ayinza obutaddamu kuyimba ku bivvulu bya NRM kuba talina Work na mpisa n’amaanyi ga Bebe Cool mu kibiina ku ludda lw’abayimbi.