Abantu 4 bafiiridde mu kabenje mu kiro, ekikeseza olwa leero ku luguudo lwe Hoima Kaiso Tonya mu disitulikiti y’e Hoima.
Akabenje kabaddewo ku ssaawa nga 2 ez’ekiro ku kyalo Bulemwa mu ggombolola y’e Bujumbura.
Ku bafudde kuliko Mungu Jakisa Bacu Emmanuel Odar ne Harriet nga bonna batuuze ku kyalo Buhirigi mu ggombolola y’e Bombo mu disitulikiti y’e Hoima ate omuntu ow’okuna (4) abadde omwana muto nga tasangiddwamu kiwandiiko kyonna.
Bonna 4 babadde ku bbodabooda ekika kya Bajaj namba UDZ 213M nga bolekera mu tawuni y’e Hoima kwe kuyingirira tulakita ebadde epaakinze ebbali w’ekkubo.
Akulira Poliisi y’oku nguudo mu disitulikiti y’e Hoima Canicious Mugisa agambye nti mu kiseera kino bali mu kunoonya dereeva wa tulakita, okutegeeza Poliisi lwaki yapakinze ebbali w’ekkubo okuva ku ssaawa 11 ez’akawungeezi.
Wabula taata wa Mungu omu ku bafiiridde mu kabenje, agambye nti mutabani we, yabadde atwala mwana mu ddwaaliro lye Hoima, eyabadde omulwadde ng’ali mu mbeera mbi.