Omugagga Suleiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga alaze nti ye musajja wanjawulo nnyo ku bagagga abalala mu Uganda n’okusingira ku bantu abeyita Abasama abeegulidde erinnya mu kusasaanya ssente.
SK Mbuga alaze nti kyakulabirako nti singa ofuna ssente, olina okuzikozesa obulungi okusobola okufuna ekitiibwa mu bantu.
Mu kiseera kino SK Mbuga y’omu ku bagagga abalina omukutu ogwa Ttiivi era akozesa abantu abasukka 20, y’omu ku bagagga abali mu kuzimba eddwaliro okuyamba abantu.
Mungeri y’emu SK Mbuga musajja alina ebizimbe by’obupangisa, Supermarket ez’enjawulo, yenyigidde mu kuzimba emizikiti.
Enkola ze, ziraga omusajja alina amagezi ku ssente, ekintu ekyalema Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White eyeegulira erinnya olw’okumansamansa ssente mu ggwanga.