Dr. Bliq omukugu mu nsonga z’omukwano, alaze emirundi buli musajja yenna gy’alina okunyumya akaboozi buli mwaka.
Dr. Bliq okuva mu ggwanga erya Bungereza agamba nti ensangi zino waliwo ebintu eby’enjawulo ebiremesa abasajja okunyumya obulungi akaboozi kyokka buli musajja alina emirundi gy’alina okwegatta okusinzira ku myaka gy’aba alina.
Okusinzira ku Dr. Bliq, abavubuka bonna okuva ku myaka 18 -29 alina okwegatta emirundi 112 buli mwaka, 30- 39, emirundi 86 buli mwaka, 40- 49, emirundi 69 buli mwaka ate abasajja bonna okuva ku myaka 50 n’okweyongerayo emirundi 40 buli mwaka.
Dr. Bliq agamba nti waliwo ebintu eby’enjawulo ebiremesa abasajja okutuukiriza ensonga z’omu kisenge omuli endwadde, emirimu ssaako n’obutakaanya mu maka.