Omuyimbi Winnie Nwagi alaze nti mu Uganda y’omu ku bakyala abayimbi abalina talenti y’okuyimba n’okuzina, ekimufudde omu ku bayimbi abasinga okukuba emiziki mu ggwanga.
Mu kiro ekikeseza olwa leero, Nwagi abadde ku Vegas Chillout Kawempe ku luguudo lwe Tula, Kampala era azinye n’asabbalaza bakabasajja ababadde bazze mu bungi okulya obulamu olw’engeri gy’abadde akyusaamu ekiwato ne banne ku siteegi.
Ku siteegi, Nwagi akubye ennyimba ez’enjawulo omuli Musawo, Amaaso, Fire Dancer, Matala n’endala era alaze nti ddala mukyala alina ekitone ky’okuyimba kuba akubye omuziki, abadigize abazze mu kivvulu ne bamatira.
Ebimu ku bifaananyi ng’ali ku siteegi



Vidiyo ng’ali ku siteegi