Bya Nalule Aminah

Gavumenti evuddeyo ku bitundu by’ekyama, eweze abakyala okuddamu okukyalira ensiko mu ggwanga.

Okusinzira ku minisita w’eggwanga o’wEkikula ky’abantu n’obuwangwa Peace Regis Mutuuzo, Gavumenti yafulumizza etteka, eritangira abakyala okuddamu okukyalira ensiko n’okusingira ddala mu Buganda.

Minisita Mutuuzo agamba nti bakoze okunoonyereza nga tewali makulu singa omukyala yenna yenyigira mu kukyalira ensiko nga balina okukirwanyisa nga webali mu kulwanyisa eky’okomola abakyala ebitundu by’ekyama.

Agamba nti waliwo abantu abeyita bassenga abegumbulidde okubba abakyala, nga befuula abagenda okubayamba okukyalira ensiko, ekinabayamba okukyamula abasajja abagenze mu kwegatta, ekintu kye balina okulwanyisa.

Mungeri y’emu agambye nti abantu balina okukomya okuzannyira ku butonde bw’omuntu kuba okukyalira ensiko, bityoboola eddembe ly’abakyala, okumala abakyala ekitiibwa ate nga biwemula.

Mu kiseera kino Martha Kay aliisa buti kuba awonye obulumi kuba y’omu ku bakyala abatakyalira nsiko oluvanyuma lwe bifaananyi bye okufuluma omwaka oguwedde ogwa 2019 ng’ali bukunya.

Eddoboozi lya Minisita Mutuuzo