Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda alaze nti munyivu nnyo eri Quiin Abenakyo myaka 24 eyali Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika 2018 – 2019.
Abenakyo enzaalwa ey’e Mayuge mu Busoga era mu Uganda ye muwala eyasooka okuwangula ekya Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika ku mikolo egyali mu ggwanga erya China mu 2018.

Wabula Gashumba agamba nti mu kiseera nga Abenakyo anoonya obuwagizi ng’ali mu China, ye munnayuganda eyasookera ddala okweyambisa omukutu gwe ogwa Face Book, okusaba abantu okumulonda kyokka oluvanyuma lw’okuwangula, teyavaayo kumwebaza.

Gashumba agamba nti abaddugavu si bangu kuba Abenakyo oluvanyuma lw’okuwangula ng’akomyewo mu Uganda, yandibadde wakiri amukubira essimu okumwebaza.
Abenakyo oluvanyuma lw’okuwangula, yagendako mu maka g’obwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, mu Palamenti n’ebifo ebirala era mu kiseera kino amanyikiddwa nnyo olw’okuwangula kwe.