Omuyimbi Rema Namakula alaze nti mu kiseera kino ye ali mu laavu ne bba Dr. Hamzah Ssebunya, ebya Eddy Kenzo wadde yamuzaalamu omwana, tayagala kubiwuliza.
Rema yali mu ddya ddya lya Kenzo emyaka ettaano (5) era yamuzaalira omwana omu yekka kyokka omwaka oguwedde ogwa 2019, yalaga nti alina omusajja omulala Dr. Ssebunya era yamutwala mu bazadde okumwanjula nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.
Okuva omwaka oguwedde, Rema abadde yesonyiwa ensonga za Kenzo okuzogerako mu mbeera yonna wabula okusosowaza laavu wakati we ne bba Hamzah.
Rema bwe yabadde ayogerako ne munnamawulire MC Ibra yagaanye okwogera ennyo ku nsonga ze ne Kenzo kuba bikadde nnyo ate ye ali mu muudu ya Ssebunya obudde bwonna.
Bwe yabuuziddwa ku nsonga za Kenzo yagambye nti, “I Wouldn’t like to talk more him because essaawa eno ndi mu feeling ya, ndi mu muudu ya ssebu yekka like I don’t want to think about something else, am someone who loves and just loves that person , i don’t mix bw’aba Ssebunya wange yooyo”
Ebigambo bya Rema biraga nti Kenzo alina okumwesonyiwa mu kiseera kino wadde alina omwana we kuba simwetegefu kumuwuliriza olw’embeera gye yamuyisaamu ate tayagala kumanya.
Eddoboozi lya Rema