Kyaddaki Omuyimbi Fille Mutoni abikudde ekyama ku kimufudde omukyala omugumu wakati mu mayengo g’ebigambo okuva mu bantu ab’enjawulo.
Okuvanyuma lwa Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats okulangirira nti mulwadde alina akawuka akaleeta siriimu omwaka oguwedde ogwa 2019, abawagizi be ne batandikirawo, okusasira mukyala we Fille nti naye yamusiiga akawuka.

Okuva omwaka oguwedde, Fille abadde yeesonyiwa okwogera ku nsonga ezo era abadde amaze ebbanga nga asiriikiridde.
Bwe yabadde ayogerako ne munnamawulire ku Sanyuka TV, yagambye nti ensonga ze zonna yazikwasa ‘Katonda’ era yamulwanira entalo ze.
Fille yalemeddwa okutegeeza eggwanga oba naye mulwadde kyokka yagambye nti abantu balina eddembe lyabwe okwogera ku buli nsonga yonna kuba ye alabika bulungi era akyebaliza Katonda.
Mungeri y’emu yakakasizza nti MC Kats taata wa mwana we era alina okumubeererawo mu buli kimu ebbanga lyonna.
Okusinzira ku Pasita Wilson Bugembe, MC Kats ayagala nnyo Fille n’abaana be era bazzeemu okukolagana obulungi mu kiseera kino.