Poliisi y’e Mayuge ekutte omukyala ku by’okutta omwana we, myaka 2 egy’obukulu.

Omukyala Namwenge Joyce myaka 20 yakwattiddwa ku by’okwata omwana we Namuno Grolia namusuula mu kabuyonjo nafiiramu ku ssaawa 4 ez’ekiro nga 2, Febwali, 2020 ku kyalo Bwango mu ggombolola y’e Malongo mu disitulikiti y’e Mayuge.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agambye nti abatuuze okutegeera nti omwana yattibwa, kyavudde ku kivundu okusanikira abatuuze nga kiva mu kabuyonjo, ekyabawalirizza okutegeeza ku Poliisi, kabuyonjo okumenyebwa.

Omulambo, gwazuuliddwa nga wayise emyaka 6 nga gutandiise okuvvunda.

Enanga agamba nti omukyala omutemu Namwenge yali yaddukira ku kyalo kye Mabonga era mu disitulikiti y’e Mayuge nga gye yasangiddwa nakwatibwa ku misango gy’okutta omwana.

Eddoboozi lya Enanga