Kyaddaki Anita Fabiola alaze nti naye avudde ku muddaala oluvanyuma lw’okulaga ensi omusajja ow’ekirooto kye gw’agamba nti ye musajja yekka ali mu birowoozo bye.

Fabiola agamba nti alina emyaka 25 kyokka abadde tavangayo mu lujjudde okulaga ensi omusajja ali ku mutima gwe.

Ku lunnaku Olwokutaano ku Valentayini, Fabiola yalaze ensi omwagalwa we era yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti ye ali mu laavu n’omusajja w’obulamu bwe era yagambye nti, “My life hack. Woke up in the city of love, on the day of love, with the love of my life“.

Fabiola Valentayini yagikwatidde mu kibuga Paris mu ggwanga erya Bufalansa ne kabiite we.
Mu kiseera kino tamanyiddwa mulimu gwakola kuba kigambibwa yagobeddwa mu NBS TV omwezi oguwedde ogwa Janwali.