Munnamawulire wa NTV Faridah Nakazibwe alaze nti naye akooye situleesi y’amawulire alina okuwumuzza ku birowoozo n’okuyiiya ebipya ebiyinza okumwanguyiza mu ntambuza y’emirimu.
Mu ggwanga Uganda, kimanyiddwa nti omuyimbi Winnie Nwagi y’omu ku bayimbi abasinga okunyenya ddiifu ku siteegi n’emikutu gyonna omuli Face Book, Instagram n’emikutu emirala kyokka Nakazibwe alaze nti naye mwetegefu okuvuganya.

Nakazibwe myaka 35 mukyala muzadde, alina abaana abamanyiddwa babiri (2) era y’omu ku basinga okusoma amawulire g’oluganda ku ttiivi mu Uganda.

Mu vidiyo, alaga nti yabadde ne mukwano gwe nga bava mu giimu kyokka yalaze nti ategeera kye bayita omuziki kuba yasobodde okunyenya ddiifu nga tewali ayinza kumwegezaamu.
Vidiyo