Kyaddaki Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda alaze nti tali mu laavu mu kiseera kino era akyali Pulezidenti wa basemyekozo mu Uganda.
Ku lunnaku olwa Valentayine, Gashumba yalaze nti naye alina mukwano gwe amulowoozaako buli kiseera kuba yamusindikidde ebimuli bingi ddala era yalaze nti ali mu ssanyu nnyo.
Oluvanyuma lw’abantu okulaba ebimuli, bangi batandikiddewo okugamba nti Gashumba yazzeemu okuggwa mu laavu era yafunye omukyala omulala okuzza ku mwana we Sheilah Gashumba.
Ku nsonga eyo, Gashumba agambye nti ebimuli byamuweereddwa mukwano gwe kuba yakikoze okumusiima ng’akyali mulamu.
Mungeri y’emu akubiriza abantu okusiima banaabwe nga bakyali balamu kuba tekikola makkulu kusiima muntu yenna ng’amaze okufa.
Vidiyo