Mutabani w’akulira ekitongole ekikkesi ekya ISO, Brian Bagyenda aguddwako omusango gw’obutemu mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Moses Kazibwe enkya ya leero.
Bagyenda nga mutuuze we Luzira mu Njobe Zooni, omulamuzi Kazibwe amusingisizza omusango gw’obutemu ne banne okuli Vicent Rwahwire 30, ne Innocent Bainomugisha 27 nga bonna baali bakozi b’awaka.
Bagyenda ne banne benyigira mu kutemula omuyizi wa MUBS Enid Twijukye, omulambo gwe ne bagusuula mu kibira ky’e Namanve mu disitulikiti y’e Mukono nga 13, January, 2017 nga gutandise okuvunda.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga 4, December, 2016 abavunaanibwa beekobaana ne batta Twijukye nga 4, January, 2017 nga baasinziira mu maka ga Bagyenda agali ku luguudo lwa Njobe era omulamuzi bonna abakalize emyaka 32.
Mu kkooti, omulamuzi agambye nti tewali kubusabuusa kwonna, Bagyenda yatta muganzi we ng’akigenderedde ng’abantu abamuyambako okutta n’okweka omulambo buli omu yamuwa emitwalo shs 30,000/=
Kigambibwa Rwahwire yanyiga obulago, Bainomugisha naakwata amagulu ate Bagyenda namuttisa “piro” gyeyamunyiggiriza mu feesi.
Omuwala kati omugenzi Twijukye yali muganzi wa Bagyenda wabula n’amuteebereza okwenda nga yasinziira ku bifaananyi bye yasanga mu ssimu gye yamugulira ng’ali n’omusajja omulala.
Oluvudde mu kkooti, taata w’omugenzi Wilson Tibegaya, agambye nti Omulamuzi yandibadde awa Bagyenda ekibonerezo ekisukkulumye ku banne abamuyambako okutta muwala we.
Bagyenda mutabani wa Maj. Kaka Bagyenda akulira ekitongole ky’amagye ekikessi ekya ISO.