Kyaddaki sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga akwasiza abaana ba Ghetto Kids, ceeke ya bukadde 114 n’emitwalo 25, (UGX 114, 250,000) okutuukiriza kye basuubiza omwaka oguwedde ogwa 2019 mu December.

Nga 19, December,  2019 ku kabaga ka Palamenti, sipiika Kadaga, yasaba abakise ba Palamenti bakirize buli omu, bamutemeko  Shs250,000 okuyamba abaana ba Ghetto Kids okutaasa ennyumba yabwe eyali etwalibwa olw’ebbanja, esangibwa mu Zooni y’e Kilani e Makindye

Okusinzira ku kalaani wa Palamenti Jane Kibirige, abakise ba Palamenti bakunganyizza obukadde Shs114,250,000, ng’obukadde Shs100, okusasula ebbanja lye nnyumba eribanjibwa ate Shs14,250,000 abaana ba Ghetto Kids, zibayambeko mu kwebezaawo.

Mu kukwasa aba Ghetto Kids Ceeke, Kadaga yewunyisa abantu okutegeeza nti Palamenti yalemwa okuyamba abaana ate nga bakimanyi bulungi nti baayingira mu nsonga eyo, nga tumalako omwaka oguwedde ogwa 2019 nga ne Palamenti yali agenze mu luwumula.

Ceeke, bagikwasiza aba Ghetto Kids mu maaso g’omugagga eyabaguza ennyumba Manisul Ssekatawa.

Omwogezi wa Ghetto Kids, Patricia Nabakooza yebazizza Palamenti okuddukirira omulanga gwabwe era basuubiza okwongera amaanyi okutuunda eggwanga Uganda mu nsi yonna.

Kigambibwa nti ennyumba baagigula obukadde 210 ne bawaako obukadde 108 era omugagga Ssekatawa abadde abbanja obukadde obusukka mu 100.

Abaana ba Triplets Ghetto Kids be baazinira mu vidiyo ya Eddy Kenzo eya ‘Sitya loss’ n’endala nnyingi, ekibafudde ab’amaanyi mu ggwanga.