Poliisi mu Kampala ekutte abantu 4 abaludde nga batigomya abatuuze b’e Kyanja ne Nakawa mu kubba ebitundu byabwe n’okubatusaako obulabe.

Mu kikweekweeto ekyakoleddwa Poliisi y’e Kiira mu bitundu bye Kyanja ne ku luguudo lwe Sekabira, abavubuka 4 tebasimatuse nga baakwattiddwa okuli Kavuma Abasa, Augustine Sadat, Madoyi Joseph ne Ssenyange Jimmy.

Mu kukwatibwa, basaangiddwa n’emisokoto gy’enjaga, amassimu ag’enjawulo agateeberezebwa okuba amabbe, ebyuma ebimenya amayumba g’abantu, ebyambe, ttooki n’ebintu ebirala.

Mu kiseera kino, abakwate bali ku Poliisi y’e Kiira ku misango gy’okusangibwa n’ebintu ebibbe era essaawa yonna, bakutwalibwa mu kkooti.