Sipiika wa Palamenti Omukyala Rebecca Alitwala Kadaga awanjagidde Gavumenti okulowooza ku ssente ezigibwa ku bantu nga bagenda okwewandiisa okuvuganya ku ky’obukiise bwa Palamenti.

Omwaka 2015, Palamenti yakola enoongosereza mu sseemateeka wa Uganda, ng’omuntu yenna okwewandiisa okuvuganya ku ntebe ya Palamenti alina okuwa obukadde 3 okuva ku mitwalo 20 ezaaliwo.

Mu Palamenti, Omubaka we Butambala, Muwanga Kivumbi agamba nti ssente obukadde 3 ziremesezza bangi ku bannayuganda okwesimbawo.

Agamba nti ssente ziyamba abo, abali mu Palamenti ssaako n’abantu ssekinomu, eggwanga ne lifiirwa abakulembeze abalungi, olw’obutaba na ssente kwesimbawo.

Ate sipiika wa Palamenti Kadaga agamba nti emirundi mingi nga bannansi bavuddeyo okwemulugunya olw’ okulinyisa ssente, okuva ku mitwalo 20 okudda ku bukadde 3, nga kiremeseza bangi okwesimbawo n’okusingira ddala abavubuka.

Agamba nti balina okuleeta enoongosereza eziyamba abantu bonna wabula sikuleta ebigenda okuyamba abo, abali mu Palamenti.

Eddoboozi lya Kadaga


READ  MOTIVATIONAL QUEEN; Miss World Africa Quiin Abenakyo Advises Girls In Kamuli To Stay In School.