Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti mu nsi yonna, buli muntu alina okwewala ebintu byonna ebiyinza okumuleetera situleesi.

Jazmine y’omu ku bakyala abakoze ebintu eby’enjawulo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Olindaki, Hit and Run, Masuuka, Jimpe, Nkubanja n’endala.

Agamba nti alina emyaka 29 kyokka talina musajja amanyikiddwa era talina mwana yenna ku nsi wadde bangi ku basajja mu ggwanga Uganda n’ensi endala bamwegomba okumukuba amatooke.

Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuwa abantu amagezi ku ngeri y’okutambuza obulamu mu ssannyu era agamba nti buli muntu alina okunoonya ekintu ekimugwanidde ekimuwa essannyu nga talina kutya okusinga okwesiba kwebyo ebitakuwa ssannyu ate olina okuba omuguminkiriza mu bulamu bwa buligyo okufuna kyewetaaga, “Be Strong Enough To Walk Away From What Isn’t Best For You, And Be Patient Enough To Wait For The Blessing You Deserve”.

Ebigambo bya Jazmine biraga nti awagidde ekya Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya oluvanyuma lw’okusuulawo Eddy Kenzo kuba yali alina okunoonya omuntu amuwa obulamu obulungi ng’ali mu ssannyu.

Mungeri y’emu alaga nti awagidde ekya Zari Hassan ne Tanasha Donna Oketch okwesonyiwa omuyimbi Diamond Platnumz kuba yali abamalako emirembe nga balina okunoonya ekibawa essannyu.