Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng alangiridde nti olunnaku olwaleero, Uganda efunye abalwadde ba Covid-19 abalala munaana (8) nga bonna bannayuganda.
Minisita Aceng agamba nti kati Uganda erina abalwadde mwenda (9) oluvanyuma lw’okuzuula omulwadde eyasooka ku Lwomukaaga ku kisaawe Entebbe nga mutuuze w’e Kibuli, Kampala.
Mungeri y’emu Minisita Aceng agambye nti abalwadde bonna 8 batuuka mu Uganda ku nnyonyi ya Ethiopian Airlines oba Emirates okuva mu kibuga Dubai.
Abalwadde 2 batuuka nga 2, March, 2020 ate 6 batuuka nga 22, March, 2020 era bonna babadde balina omusujja omuyitirivu.
Minisita Aceng mu kwogerako eri bannamawulire e Mulago ekiro kya leero, asabye bannayuganda bonna abaliko e Dubia mu sabiti 2 eziyise, okuvaayo okwekebejjebwa kuba bayinza okuba balina obulwadde bwa Covid-19.
Mu kiseera kino mu nsi yonna abalwadde bali 375,225, abaakafa obulwadde bali 16,359.