Omuwendo gw’abalwadde ba Covic-19 mu Uganda guweze 14 oluvanyuma lwa akawuka ka Corona Virus okutuuka mu ggwanga sabiti ewedde.

Emisana ga leero, Minisitule y’ebyobulamu erangiridde nti Uganda efunya abalwadde abalala bataano (5) oluvanyuma lw’okwekebejjebwa nga balina ssenyiga, omusujja n’obubonero obulala.

Okusinzira ku kw’akola ng’akulira eby’obujjanjabi mu ggwanga, Dr. Henry Mwebesa abalwadde kuliko omusajja myaka 63 nga mutuuze we Najjanankumbi ng’abadde yakava mu ggwanga lya Germany, omusajja omulala myaka 57 nga mutuuze we Adjumani nga y’omu ku basuubuzi mu katale k’e Elegu ku nsalo ya Uganda ne South Sudan.

Ku balwadde kuliko n’omwana myezi munaana (8) mu bitundu bye Iganga. Mwebesa agamba nti taata w’omwana aabadde yakakomawo okuva mu ggwanga erya Kenya mu bitundu bye Kisumu.

Ate ku bannansi ba China 6 abaabadde badduse okuva mu kalantini mu bitundu bye Nagguru okweyambisa ensalo ya DRC okudduka mu ggwanga, 2 bazuuliddwa nga balwadde.

Ate abalwadde abasooka okuzuulibwa (9), Mwebesa agamba nti bali mu mbeera nungi era bakubye ku matu mu ddwaaliro Entebe.