Omuwala eyeeyita Amber Christ Movie ku Face Book alemeddeko okuleeta obujjulizi ku by’omuyimbi Daddy Andre okumukozesa mu situdiyo ng’amusuubiza okumuyamba okutumbula talenti y’okuyimba kwe.

Amber agamba nti yawa Andre obukadde bwa ssente 3 kyokka yamulimbalimba okutuusa bwe yamukozesa mu situdiyo nga tayambadde na Kondomu era ali mu kutya mu kiseera kino, “l want to expose this motherfucker moron and l want to go for checkups because he never used a condom so lam worried about my life too .And l want him to pay my money 3m before l sue the shit out of his asshoe”.

Wadde alaga nti yawa Andre obukadde 3, tawadde nsonga yonna okulaga nti ssente zaali za kuwandiika luyimba, kufulumya (Production) oba kukola kulabo kyokka alaga nti mwetegefu okuleeta bwiino yenna.

Wabula Andre bw’abadde awayamu ne kigatto waffe agambye nti omuwala tamumanyi era kirabika avuddeyo kwonoona linnya lye kyokka alina okweddako.

Mu bigambo bya Andre ne kigatto waffe alaga nti singa Amber teyetonda oba okumyenyawo ebigambo bye, ayinza okumutwala mu mbuga z’amateeka.