Ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi kifulumizza alipoota ku bantu abakwattiddwa oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, okusindika abantu ku muggalo okuva nga 19, Ogwokusatu, 2020 ng’emu ku ngeri y’okutangira ekirwadde kya Kolona okusasaana.
Alipoota, eraga nti bakakwata abantu 3654 olw’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga mu Kampala n’emirirwano, 1641 baatwalibwa mu mu kkooti, 627 bayimbuddwa kakalu ka Poliisi.
Ate emmotoka ezikwattiddwa nga tezikirizibwa kutambula 1097 ne Ppikipiki 2279 ng’abantu 1386 Poliisi yabakwata kyokka oluvanyuma ne basonyiyibwa.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso ne mu nnaku 14 ze bayongeddeyo ezitandise olwaleero.

Ate eri abantu abakkiriziddwa okudda ku mirimu, omuli aba galagi, abatunda sipeeya w’ebiduuka, bannamateeka abamu, abatunda ebizimbisibwa, abookya ebyuma n’abalala, Poliisi ebalabudde okutambula n’ebiwandiiko ebiyinza okuboogerako omuli Ndaga muntu y’eggwanga.
Enanga agamba nti okutangira abantu okudda mu Kampala okutayaaya, balina okuteeka emisanvu mu kkubo mu ngeri y’ebikwekweeto, abantu abadda mu Kampala omuli n’abo abakeera okutambula, okwewozaako n’emirimu gye bakola nga beeyambisa Densite zaabwe.
Ate mu ngeri y’okutangira Kolona okusasaana, Poliisi erangiridde okuteeka mu nkola ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga nga buli muntu yenna okutambula, alina okuba me Masiki mu ffeesi.
Enanga agamba nti Masiki kyabuwaze ku buli muntu yenna afuluma ennyumba okutambula, okutangira okusasaanya obulwadde.